Poliisi mu Kampala ekutte abantu abasukka mu 400 mu kikwekweto ekikoleddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, okukwata abamenyi b’amateeka. Abakwattiddwa baggiddwa mu bitundu omuli Katwe, Nsambya, Kisenyi, Kampala Mukadde, Namirembe Road, Wandegeya, Kabalagala, Jinja Road, mu kibuga wakati, omwala gwe Nakivubo, ssaako n’ebintu ebirala. Ekikwekweto kikulembeddwamu adduumira Poliisi mu Kampala Moses Kafeero era abakwattiddwa ne […]
Poliisi mu Kampala ekutte abantu abasukka mu 400 mu kikwekweto ekikoleddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, okukwata abamenyi b’amateeka.
Abakwattiddwa baggiddwa mu bitundu omuli Katwe, Nsambya, Kisenyi, Kampala Mukadde, Namirembe Road, Wandegeya, Kabalagala, Jinja Road, mu kibuga wakati, omwala gwe Nakivubo, ssaako n’ebintu ebirala.
Ekikwekweto kikulembeddwamu adduumira Poliisi mu Kampala Moses Kafeero era abakwattiddwa ne baggalirwa ku poliisi kiteeberezebwa nti benyigira mu kunyakula ensawo z’abakyala, amasiimu, okusala ensawo n’okumenya amayumba.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwattiddwa essaawa yonna batwalibwa mu kkooti ku misango egyenjawulo oluvanyuma lw’okusunsulwamu.