Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alangiridde ekigenda okuyamba bannayuganda okufuna enkyukakyuka mu kulonda kwa 2021 ku kifo ky’obukulembeze bw’eggwanga. Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agambye nti bannayuganda bonna balina “OKWEBERELAMU“, okusobola okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza. Agamba nti abalamuzi mu […]
Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alangiridde ekigenda okuyamba bannayuganda okufuna enkyukakyuka mu kulonda kwa 2021 ku kifo ky’obukulembeze bw’eggwanga.
Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agambye nti bannayuganda bonna balina “OKWEBERELAMU“, okusobola okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza.
Agamba nti abalamuzi mu kkooti ensukulumu okuwagira eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna ayagala obukulembeze bw’eggwanga, kabonero akalaga nti kkooti tebasobola kuzeesigamako okufuna enkyukakyuka.