Omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Jose Chameleone awereddwa ebiragiro nti alina okuwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekitiibwa n’obuwagizi bw’aba ayagala okuwangula obwa Loodi Meeya mu kulonda kwa 2021. Okusinzira ku Ssabavvulu Balaam,”Chameleone muganda we, tukolaganye bulungi naye emyaka egisukka 25, Chameleone ampuliriza ate ampa ekitiibwa yantukiridde nagaamba nti Balaam ngenda kwesimbawo ku bwa Loodi Meeya […]
Omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Jose Chameleone awereddwa ebiragiro nti alina okuwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekitiibwa n’obuwagizi bw’aba ayagala okuwangula obwa Loodi Meeya mu kulonda kwa 2021.
Okusinzira ku Ssabavvulu Balaam,”Chameleone muganda we, tukolaganye bulungi naye emyaka egisukka 25, Chameleone ampuliriza ate ampa ekitiibwa yantukiridde nagaamba nti Balaam ngenda kwesimbawo ku bwa Loodi Meeya ne mugamba ndi wamu naawe ku bwa meeya omuntu yenna ayagala okwesimbako, Ragga Dee omwaka oguwedde namuwagira, kati Chameleone bw’aba antuukiridde ngenda kuwagira Chameleone kuba asobola bulungi ekya Loodi Meeya naye namugamba nti togezaako wadde okuvuganya Pulezidenti Museveni nja kusabula, nja kukalakata siriddamu kukolagana naawe, so ye yakimanya era ekya Pulezidenti y’akyesonyiwa“.
Balaam era agambye nti mu kulonda kwa 2021, Chameleone agenda kwesimbawo nga talina kibiina kyonna ate alina esuubi nti omuntu we wakufuna obuwanguzi.
Mu kiseera kino Chameleone alina okwetekateeka obulungi okwenganga abantu abenjawulo omuli Ssalongo Erias Lukwago, Latif Ssebaggala n’abalala.