Kyaddaki Poliisi ewadde ensonga lwaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine tebalina kumukirizza kutambula mu kiseera kino. Okuva ku Mmande, Poliisi n’amaggye bagumye mu maka ga Bobi Wine e Magere okumulemesa okutambula ng’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri yabadde agezaako okuva makaage ne bamulemesa bwe yabadde agenda ku kitebe kya […]
Kyaddaki Poliisi ewadde ensonga lwaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine tebalina kumukirizza kutambula mu kiseera kino.
Okuva ku Mmande, Poliisi n’amaggye bagumye mu maka ga Bobi Wine e Magere okumulemesa okutambula ng’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri yabadde agezaako okuva makaage ne bamulemesa bwe yabadde agenda ku kitebe kya Poliisi e Naguru okwemulugunya ku kya Poliisi okumulemesa okukola emirimu gye.
Okusinzira ku Poliisi, Bobi Wine yakunze bannayuganda okukola efujjo mu kwekalakaasa ekintu ekimenya amateeka.
Mungeri y’emu Poliisi egamba nti ebigambo bya Bobi Wine byabulabe nnyo mu kiseera kino kuba biyinza okutabangula eggwanga era y’emu ku nsonga lwaki tebayinza kumukirizza kutambula.
Vidiyo eyabaddemu ebigambo bya Poliisi ku nsonga za Bobi Wine