Tamale Mirundi abotodde ebyama, yiino ensonga lwaki Gavumenti eremesa Bobi Wine okuyimba, aleese bwiino yenna

©GALAXY

Tamale Mirundi avuddeyo ku kya Poliisi okulemesa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti okuyimba wadde okugenda mu kivvulu kyonna okusanyusa abantu. Mirundi agamba nti mu nsi yonna, singa omuntu yenna avaayo n’ekigendererwa eky’okuvuganya Gavumenti, balina okumwavuwaza okumukendeeza amaanyi okuvuganya gavumenti. Mungeri y’emu agambye nti Gavumenti erina okulemesa Bobi Wine okuyimba kuba abadde afunamu ssente mpitirivu […]


Tamale Mirundi avuddeyo ku kya Poliisi okulemesa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti okuyimba wadde okugenda mu kivvulu kyonna okusanyusa abantu.
Mirundi agamba nti mu nsi yonna, singa omuntu yenna avaayo n’ekigendererwa eky’okuvuganya Gavumenti, balina okumwavuwaza okumukendeeza amaanyi okuvuganya gavumenti.
Mungeri y’emu agambye nti Gavumenti erina okulemesa Bobi Wine okuyimba kuba abadde afunamu ssente mpitirivu nnyo mu bivvulu ebyenjawulo.
Tamale Mirundi agamba nti Gavumenti ezenjawulo kikoze kyamaanyi okwavuwaza omuntu yenna eyegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga era Bobi Wine alina okwegendereza.

Mirundi bwe yabadde ku NBS TV mu Pulogulamu One on one with Tamale Mirundi, olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, yagambye nti Gavumenti erina okukola kyonna okwavuwaza Bobi Wine okumunafuya mu byobufuzi.