Gwe mukyala asinga obulungi mu Africa era gwe queen wange yekka, Kenzo agumizza Rema ku laavu yaabwe, amusindikidde obugambo obujjudde omukwano

©GALAXY

Omuyimbi Eddy Kenzo awadde mukyala we Rema Namakula erinnya erisinga obunene mu Africa yonna mu ngeri y’okuzza omukwano gwe obuggya. Wadde waliwo bannayuganda abagamba nti Kenzo ne Rema balina obutakaanya mu laavu yaabwe, Kenzo alaze nti buli kimu kitambula bulungi era tewali muntu yenna alina kutabangula mukwano gwabwe. Mu mbeera eyo, Kenzo asobodde okweyambisa omukutu […]


Omuyimbi Eddy Kenzo awadde mukyala we Rema Namakula erinnya erisinga obunene mu Africa yonna mu ngeri y’okuzza omukwano gwe obuggya.

Wadde waliwo bannayuganda abagamba nti Kenzo ne Rema balina obutakaanya mu laavu yaabwe, Kenzo alaze nti buli kimu kitambula bulungi era tewali muntu yenna alina kutabangula mukwano gwabwe.

Eddy Kenzo
Eddy Kenzo

Mu mbeera eyo, Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuyozayoza Rema okutuuka ku mazaalibwa ge kyokka mu ngeri y’omukwano, asobodde okweyambisa obugambo obujjudde omukwano.

Kenzo alaze nti Rema ye maama Africa era amuwadde erinnya lwa queen, “Happy birthday Maama Africa @remah001 👸 @eddykenzo’s queen! Lets show her some love”.