Kyaddaki Eddy Kenzo avuddemu omwasi, asindikidde Pulezidenti Museveni obubaka obukambwe nga talimu kutya kwonna

©GALAXY

Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku nsonga y’amateeka mu ggwanga lino n’engeri abantu gye bakwatibwamu. Mu Uganda, amateeka mangi agaliwo okulungamya abantu omuli erirungamya enkungana mu ggwanga era abantu bangi n’okusingira ddala bannabyabufuzi abakubiddwa omuka ogubalagala olw’okulemwa okutegeeza ku Poliisi ku enkungana zzaabwe. Mu kiseera kino, Gavumenti eyagala kuleeta tteeka okulungamya abayimbi ne bannakatemba. Wabula […]


Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku nsonga y’amateeka mu ggwanga lino n’engeri abantu gye bakwatibwamu.
Mu Uganda, amateeka mangi agaliwo okulungamya abantu omuli erirungamya enkungana mu ggwanga era abantu bangi n’okusingira ddala bannabyabufuzi abakubiddwa omuka ogubalagala olw’okulemwa okutegeeza ku Poliisi ku enkungana zzaabwe.
Mu kiseera kino, Gavumenti eyagala kuleeta tteeka okulungamya abayimbi ne bannakatemba.
Wabula Kenzo agamba nti abantu abalungi tebetaaga mateeka mu bulamu bwa buligyo wabula abantu abakyamu bebetaaga engeri y’amateeka, “Good people do not need laws to tell them to act responsibly, while bad people will find a way around the laws“.
Mu mbeera eyo, abamu ku bannayuganda bagamba nti obubaka bwa Kenzo abadde abuweereza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku ngeri Gavumenti ye gye sukkiridde okuleeta amateeka ku bannansi.