Paasita Aloysius Bugingo ow’ekkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere alaze lwaki tasobola kuddamu kwagala wadde okubeera ne mukyalawe ow’empeta Teddy Naluswa. Paasita Bugingo bwe yabadde mu kusaba kw’amalya g’ebyemisana ku Lwokuna yayongedde okulayira nga bw’atagenda kukkiriza muntu yenna okwekomya bintu bya kkanisa kubanga avudde wala n’ekkanisa eno. Kigambibwa mukyala we Teddy n’omwana […]
Paasita Aloysius Bugingo ow’ekkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere alaze lwaki tasobola kuddamu kwagala wadde okubeera ne mukyalawe ow’empeta Teddy Naluswa.
Paasita Bugingo bwe yabadde mu kusaba kw’amalya g’ebyemisana ku Lwokuna yayongedde okulayira nga bw’atagenda kukkiriza muntu yenna okwekomya bintu bya kkanisa kubanga avudde wala n’ekkanisa eno.
Kigambibwa mukyala we Teddy n’omwana waabwe Doreen Bugingo balina ekigendererwa eky’okuba ebintu bye Kkanisa omuli ne ttaka.

Bugingo agamba nti mwetegefu nnyo okulwanirira ebintu bye Kkanisa era mwetegefu okufa.
Mu ngeri y’okulaga nti tasobola kuddamu kwesembereza vuvuzera ya Teddy, Bugingo alaze nti bangi ku basajja battiddwa mu ngeri ezenjawulo nga kivudde ku bakyala okwekobaana n’abaana era ye y’emu ku nsonga lwaki ensonga za famire ye, azitadde mu mawulire.
Mu mbeera eyo, Paasita Bugingo anokoddeyo abamu ku basajja abattiddwa nga mulimu omukono gw’omukyala n’abaana omuli Omugenzi Eriya Ssebunya Bugembe eyali amanyiddwa nga Kasiwukira, Juvenile Nsenga agambibwa nti yattibwa mukyala we Jacqueline Uwera Nsenga n’abalala.
Kigambibwa mu kiseera kino Paasita Bugingo alina omukyala omulala Susan Makula Nantaba era ambu amuzimbidde enju amatiribona e Wakiso ku ttaka eriweza yiika 10.