Poliisi mu Kampala ekutte abadde yegumbulidde okubba emmotoka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. Akwattiddwa ategerekese nga Tumwesigye Gordon atemera mu gy’obukulu nga 37, mutuuze mu divizoni y’e Kawempe. Okusinzira ku Poliisi, basobodde okweyambisa Kamera, era bewunyiza omusajja agidde ku bodaboda okulumba ekitundu omusimbibwa mmotoka mu kibangirizi kya ssemateeka, okwagala okubba emmotoka. Poliisi esobodde okwanguwa era […]
Poliisi mu Kampala ekutte abadde yegumbulidde okubba emmotoka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.
Akwattiddwa ategerekese nga Tumwesigye Gordon atemera mu gy’obukulu nga 37, mutuuze mu divizoni y’e Kawempe.
Okusinzira ku Poliisi, basobodde okweyambisa Kamera, era bewunyiza omusajja agidde ku bodaboda okulumba ekitundu omusimbibwa mmotoka mu kibangirizi kya ssemateeka, okwagala okubba emmotoka.
Poliisi esobodde okwanguwa era wetukidde mu kitundu ekyo nga Tumwesigye asobodde okweyambisa ebyuma, okumenya oluggi lw’emmotoka nnamba UAW 317R.
Tumwesigye eteekeddwako empingu era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS ku misango gy’okubba.
Poliisi egamba nti Tumwesigye alina akabinja bwe bakolagana okubba emmotoka nezitwalibwa okutundibwa mu ggwanga erya DC Congo.