Abatuuze ku kyalo Ragem West mu ggombolola y’e Wadelai mu Disitulikiti y’e Pakwach baguddemu ekiyongobero, famire y’abantu mwenda (9) bwe balidde emmere ya mawogo, eteeberezebwa okubeeramu obutwa, babiri (2) bafiiriddewo. Abafudde kuliko omwana Mercy Afoyorwoth myaka 9 omuyizi ku Paten Primary school ne Sheebah Giramia myaka 11 asoma P1 ku Alii Ragem Primary School ate […]
Abatuuze ku kyalo Ragem West mu ggombolola y’e Wadelai mu Disitulikiti y’e Pakwach baguddemu ekiyongobero, famire y’abantu mwenda (9) bwe balidde emmere ya mawogo, eteeberezebwa okubeeramu obutwa, babiri (2) bafiiriddewo.
Abafudde kuliko omwana Mercy Afoyorwoth myaka 9 omuyizi ku Paten Primary school ne Sheebah Giramia myaka 11 asoma P1 ku Alii Ragem Primary School ate abantu musanvu (7) nga bakulembeddwamu ssemaka Robert Oketcha, batwaliddwa mu ddwaaliro erya Pakwach Health Centre IV nga bali mu mbeera embi.
Ssentebbe wa LC 3 mu ggombolola y’e Wadelai, Richard Ngos Veve, agambye nti emmere gye baalidde egenda kwekebejjebwa era asabye abatuuze obutagezaako okutwalira amateeka mu ngalo kuba kimenya amateeka.
Mungeri y’emu agambye nti emirambo gy’abaana gitwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa okuzuula ebisingawo.