Tewali muntu yenna ayinza kutabangula mirembe nga ndi mu ntebe, Museveni agumizza bannayuganda

©GALAXY

Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda. Museveni agamba nti bukya akwata obuyinza, bannayuganda balina emirembe kuba Gavumenti ye esobodde okukola ku nsonga y’ebyokwerinda. Bw’abadde ayogerako eri eggwanga ku Serena Hotel mu Kampala, Museveni awadde eky’okulabirako nti ku kiggwa ky’abajjulizi e Namugongo nti […]


Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda.

Museveni agamba nti bukya akwata obuyinza, bannayuganda balina emirembe kuba Gavumenti ye esobodde okukola ku nsonga y’ebyokwerinda.

Bw’abadde ayogerako eri eggwanga ku Serena Hotel mu Kampala, Museveni awadde eky’okulabirako nti ku kiggwa ky’abajjulizi e Namugongo nti buli mwaka nga 3, June, bantu okuva mu nsi ez’enjawulo bakung’aana okusaba lw’abajjulizi abattibwa olw’eddini era eby’okwerinda bibeera gulugulu.

Museveni awadde bannayuganda essuubi okukola emirimu gyabwe kuba tewali muntu yenna ayinza kutabangula ggwanga lino ng’ali mu ntebe.