Kyaddaki Zari alaze ensi ffeesi ya bba King Bae, kino kye bayita omukwano okusomooza Platnumz

©GALAXY

Mu nsi y’omukwano, buli muntu yenna alina eddembe okukola ebintu ebiwa mukwano gwe essanyu kuba mu laavu, ebintu binyuma nnyo nga mukwatagana bulungi. Mu mbeera eyo, omukyala Zari Hassan akutudde omutima eyali bba Diamond Platnumz bw’alaze ensi ffeesi ya bba omuggya King Bae. Zari yabadde mu ggwanga rya Tanzania ku mirimu gye nga Ambasadda wa […]


Mu nsi y’omukwano, buli muntu yenna alina eddembe okukola ebintu ebiwa mukwano gwe essanyu kuba mu laavu, ebintu binyuma nnyo nga mukwatagana bulungi.

Mu mbeera eyo, omukyala Zari Hassan akutudde omutima eyali bba Diamond Platnumz bw’alaze ensi ffeesi ya bba omuggya King Bae.

Zari yabadde mu ggwanga rya Tanzania ku mirimu gye nga Ambasadda wa Softcare Diapers era wakati mu kulaga omukwano, yasobodde okulaga ensi ffeesi ya bba n’okumusiima mu ngeri ey’enjawulo omuli okukuuma abaana.

Bba yali mu ‘Black and White’ ate omuvubuka omulala ye Don Micky, mukwano gwa Zari era yasobodde okufuna omukisa okwekubya ebifaananyi naye.