LABA OKUSWALA! Kyaddaki Tanasha Donna Oketch ayogedde emyaka gye emituufu, Platnumz asigadde asobeddwa

©GALAXY

Kyaddaki muganzi w’omuyimbi Diamond Platnumz, Tanasha Donna Oketch yeewunyisiza abantu bw’ayogedde emyaka gye emituufu. Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi nti awezeza emyaka 24 era yazaalibwa nga 7, July, 1995. Emyaka gya Tanasha kiraga nti Zari Hassan eyali mukyala wa Platnumz amusiinga emyaka 14 kuba Zari alina emyaka 38. Mu ngeri y’emu kiraga […]


Kyaddaki muganzi w’omuyimbi Diamond Platnumz, Tanasha Donna Oketch yeewunyisiza abantu bw’ayogedde emyaka gye emituufu.

Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi nti awezeza emyaka 24 era yazaalibwa nga 7, July, 1995.

Emyaka gya Tanasha kiraga nti Zari Hassan eyali mukyala wa Platnumz amusiinga emyaka 14 kuba Zari alina emyaka 38.

Mu ngeri y’emu kiraga nti y’emu ku nsonga lwaki ali mu laavu ne Platnumz kuba bambi akyali muwala muto, tazaalangako mu bulamu bwe.

Wabula agava mu ggwanga erya Kenya galaga nti ali lubuto lwa Platnumz.

Platnumz asigadde asobeddwa kuba Tanasha okugamba nti alina emyaka 24, alaga nti mulimba, okusinzira ku mikwano gye, abadde alowooza nti ali wakati w’emyaka 26 – 28.