Abantu 9 abakwatibwa ku by’okutta munnamateeka Isaac Sendegeya mu disitulikiti y’e Kisoro, basindikiddwa mu kkooti enkulu ku misango gy’obutemu. Ssendegaye yakubwa amasasi agamuttirawo abasajja babiri (2) ku kyalo Nturo nga 21, July, 2019, okumpi n’amakaage. Abavunaanibwa kuliko Charles Munyaneza (Seruhasha), Claude Ndagizimana, Steven Mfitundinda amanyikiddwa nga Season-a ng’avuga bodaboda mu katawuni k’e Bunagana mu disitulikiti […]
Abantu 9 abakwatibwa ku by’okutta munnamateeka Isaac Sendegeya mu disitulikiti y’e Kisoro, basindikiddwa mu kkooti enkulu ku misango gy’obutemu.
Ssendegaye yakubwa amasasi agamuttirawo abasajja babiri (2) ku kyalo Nturo nga 21, July, 2019, okumpi n’amakaage.

Abavunaanibwa kuliko Charles Munyaneza (Seruhasha), Claude Ndagizimana, Steven Mfitundinda amanyikiddwa nga Season-a ng’avuga bodaboda mu katawuni k’e Bunagana mu disitulikiti y’e Kisoro.
Abalala kuliko Sikola Nyiramajambere, Asuman Hagumakwiha, Issah Mvano, Asuman Tito Hahumakwiha, Vianney Mvano Issah, Hadijjah Niyijena ne Eliminate Mutesi.
Kigambibwa Nyiramajambere yawa Munyaneza ne Ndagizimana obukadde bwa ssente 8 okutta Sendegeya kuba yali awanguddwa omusango gw’ettaka mu kkooti.
Mfitundinda yaweebwa ssente okuvuga abatemu ku bodaboda okusobola okutta Sendegeya.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, abavunaanibwa basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Kisoro Raphael Vueni wakati mu by’okwerinda, kwekutegeezebwa nti oludda oluwaabi lufundikidde okunoonyereza era omulamuzi bonna yabasindise mu kkooti enkulu, okutandiika okwewozaako.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate agamba nti abantu bonna 9 buli omu alina omulimu gwe yakola, okutuukiriza eky’okutta Ssendegaye.