Poliisi ekutte omwana abadde yeyita Fresh Kid e Iganga, abadde asasulwa bukadde bwa ssente okuyimba

©GALAXY

Poliisi y’e Iganga ekutte omwana myaka 8 abadde yeyita omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid. Omwana akwattiddwa abadde ayimba ennyimba za Fresh Kid mu bitundu bye Iganga ng’apangisibwa okuyimba mu bifo eby’enjawulo. Ku Poliisi, omwana aguddwako emisango egy’enjawulo omuli okwefuula kyatali n’okufuna ssente mu lukujjukujju. Kigambibwa omwana abadde akozesebwa era Poliisi etandiise okunoonyereza ku […]


Poliisi y’e Iganga ekutte omwana myaka 8 abadde yeyita omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid.
Omwana akwattiddwa abadde ayimba ennyimba za Fresh Kid mu bitundu bye Iganga ng’apangisibwa okuyimba mu bifo eby’enjawulo.

Omwana yeyita Fresh Kid
Omwana yeyita Fresh Kid

Ku Poliisi, omwana aguddwako emisango egy’enjawulo omuli okwefuula kyatali n’okufuna ssente mu lukujjukujju.
Kigambibwa omwana abadde akozesebwa era Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.

Ekifaananyi kya Bizz Uganda