Yiino ensonga lwaki Rema asuddewo Kenzo, akooye obutakutta kaboozi, afunye Sebunya alina eyalagirwa emutuuka buli kasonda ka vuvuzera

©GALAXY

Bangi ku bannayuganda bakyebuuza ekyaviriddeko Rema Namakula okusuulawo Eddy Kenzo wadde alina erinnya mu kisaawe ky’okuyimba era ye munnayuganda yekka alina Award ya BET. Okusinzira ku Ssenga Kawomera, Kenzo wadde alina ssente n’erinnya, alemeddwa okuwa mukyala we Rema obudde obumala mu nsonga z’omukwano. Ssenga Kawomera agamba nti Kenzo musajja alabika bulungi kyokka Rema abadde alina […]


Bangi ku bannayuganda bakyebuuza ekyaviriddeko Rema Namakula okusuulawo Eddy Kenzo wadde alina erinnya mu kisaawe ky’okuyimba era ye munnayuganda yekka alina Award ya BET.

Okusinzira ku Ssenga Kawomera, Kenzo wadde alina ssente n’erinnya, alemeddwa okuwa mukyala we Rema obudde obumala mu nsonga z’omukwano.

Ssenga Kawomera agamba nti Kenzo musajja alabika bulungi kyokka Rema abadde alina ennyonta ya laavu okuva eri bba, era y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okufuna omusajja omulala anaamuwa ku ssanyu ly’omu kisenge.

Ssenga agamba nti abakyala bonna betaaga obudde obumala ku nsonga z’omu kisenge kyokka Kenzo abadde alemeddwa okuwa Rema kye yetaaga.