Omuyimbi Eddy Kenzo y’omu ku basajja abalina omutima omulungi kuba ye alaze nti mwetegefu nnyo okukolagana ne musangi we Dr Hamza Ssebunya. Mu Kiseera kino Kenzo ali mu maziga oluvanyuma lwa mukyala we Rema Namakula okumusuulawo. Rema ali kuteekateeka mukolo okwanjula bba Dr Hamza mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku luguudo lwe […]
Omuyimbi Eddy Kenzo y’omu ku basajja abalina omutima omulungi kuba ye alaze nti mwetegefu nnyo okukolagana ne musangi we Dr Hamza Ssebunya.
Mu Kiseera kino Kenzo ali mu maziga oluvanyuma lwa mukyala we Rema Namakula okumusuulawo.
Rema ali kuteekateeka mukolo okwanjula bba Dr Hamza mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku luguudo lwe Masaka.
Wabula mu kiwandiiko kya Kenzo ku mukutu ogwa Face Book, yasobodde okuyozayoza bba wa Rema, Dr Hamza Ssebunya okufuna omukyala. Kenzo yagambye nti Rema yafunye omusajja ow’ekirooto kye era Ssebunya alina okumwagala ennyo kuba y’emu ku nsonga lwaki yamusuddewo, “I congratulate you Mr SEBUNYA yogayoga ssebo. Rema mwagale bambi becouse your the man of her dreams and the reason why she made this big decision, she is living her dreams mashallah“.
Bba wa Rema Dr. Ssebunya mutabani w’omugenzi Ahmed Kibirige eyali Ssentebe wa Bannayuganda abasuubulira mu kibuga Dubai. Maama wa Ssebunya abeera Kirinya- Bweyogerere.
Dr. Ssebunya asula Namugongo gy’alina amaka, musajja musuubuzi era alina bizinensi y’okutunda ebikozesebwa abasawo ku luguudo lwa Johnson Street.
Mu May 2019, yawoowa Rema nga beetegekera okutandika ekisiibo era emikolo gy’ali mu maka ga maama e Kirinya- Bweyogerere.