VIDIYO! Nze omuntu yenna gwenjagala ku mutima nina okugifumba kuba nange yesiinga okumpomera mu bulamu bwange, Rema ayogedde emmere gy’abadde afumbira Kenzo, Dr Hamza gye yesuunga

©GALAXY

Omuyimbi Rema Namakula agamba nti mu bulamu, ayagala nnyo okulya kye bayita ‘omuceere’ kuba guwooma nnyo. Rema bw’abadde awayamu n’omukozi ku 100.2 Galaxy FM mu pulogulamu ya Morning Saga, Mariat Candy Nasasira agambye nti omuceere ye mmere yokka esobola okumuwa essanyu n’okuwomerwa okulya emmere. Agamba nti mu bulamu bwe, singa afuna omuntu gw’ayagala ku mutima, […]


Omuyimbi Rema Namakula agamba nti mu bulamu, ayagala nnyo okulya kye bayita ‘omuceere’ kuba guwooma nnyo.
Rema bw’abadde awayamu n’omukozi ku 100.2 Galaxy FM mu pulogulamu ya Morning Saga, Mariat Candy Nasasira agambye nti omuceere ye mmere yokka esobola okumuwa essanyu n’okuwomerwa okulya emmere.
Agamba nti mu bulamu bwe, singa afuna omuntu gw’ayagala ku mutima, amufumbira ‘Piraawo’ kuba ye mmere gy’asinga okufumba obulungi.

Ebigambo bya Rema biraga nti Kenzo agenda kusubwa Piraawo gw’abadde amufumbira wakati mu laavu kyokka Dr Hamza ali mu kwesuunga Rema mu kiseera kino.