Omuyimbi w’ennyimba z’eddini mu ggwanga erya Rwanda Albert Nabonibo agambye nti yawaliriziddwa okulekulira omulimu gwe ogw’okubala ebitabo mu kibuga Kigali, oluvanyuma lw’okuwa obujjulizi nti muli wa bisiyaga. Mu ggwanga erya Rwanda, omuntu yenna okulya ebisiyaga simusango kyokka bangi ku bannadiini balemeddeko okubivumirira. Nabonibo bwe yali ku mukutu ogwa BBC omwezi oguwedde ogwa September, yategeeza nti […]
Omuyimbi w’ennyimba z’eddini mu ggwanga erya Rwanda Albert Nabonibo agambye nti yawaliriziddwa okulekulira omulimu gwe ogw’okubala ebitabo mu kibuga Kigali, oluvanyuma lw’okuwa obujjulizi nti muli wa bisiyaga.
Mu ggwanga erya Rwanda, omuntu yenna okulya ebisiyaga simusango kyokka bangi ku bannadiini balemeddeko okubivumirira.
Nabonibo bwe yali ku mukutu ogwa BBC omwezi oguwedde ogwa September, yategeeza nti wadde musajja wa ddiini, muli wa bisiyaga.
Agamba nti ebintu byali bitambula bulungi ku mulimu kyokka bakozi banne olwalaba sitoole, kwekutandiika okumusosola era oluvanyuma bakama be kwe kumulagira okulekulira mu bwangu, “I was good at my job, but when fellow employees saw the story they started hating me, then my bosses pushed me to resign“.
Nabonibo agamba nti okulekulira kwabadde kusiinga okumugoba okusobola okukuuma ebyafaayo bye.
Mungeri y’emu agambye nti, oluvanyuma lw’okuvaayo ku mukutu ogwa BBC, obulamu bwe bweyongedde okukyuka nga mu kiseera bangi ku bantu omuli aba famire, tebakyayagala kwogera naye wadde okumukubira essimu, “I am afraid, I am not free as before, but I wish my society could understand“.