AWEDDE! Omuyimbi wabwe akwattiddwa mu kibuga wakati, atwaliddwa mu kaduukulu ka poliisi wakati mu byokwerinda

©GALAXY

Omuyimbi ow’erinnya mu ggwanga erya Rwanda Ngabo Medard amanyikiddwa nga Meddy akwattiddwa, bw’asangiddwa ng’avuga emmotoka nga yenna atamidde mu kibuga Kigali. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kibuga Kigali, Goretti Umutesi, Meddy alina okusibwa ennaku 5 oba okuwayo ssente 150,000 eza Rwanda. Meddy awangalira mu ggwanga erya America nga yabadde aze mu ggwanga erya Rwanda […]


Omuyimbi ow’erinnya mu ggwanga erya Rwanda Ngabo Medard amanyikiddwa nga Meddy akwattiddwa, bw’asangiddwa ng’avuga emmotoka nga yenna atamidde mu kibuga Kigali.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kibuga Kigali, Goretti Umutesi, Meddy alina okusibwa ennaku 5 oba okuwayo ssente 150,000 eza Rwanda.

Meddy awangalira mu ggwanga erya America nga yabadde aze mu ggwanga erya Rwanda okuyimbira abawagizi be n’okutabaala ensi endala mu Africa.

Oluyimba lwe olumanyiddwa nga ‘Slowly’ lwakalabwa abantu abasukka mu bukadde 18 ku mukutu ogwa You Tube.