Wuuno omuyimbi omukyala asoose okukopa Rema okukola ‘Intro shower’, afunye omusajja Katonda gwe yawa omutima gwa waaya

©GALAXY

Omuyimbi Julie Angume eyali mukyala w’omugenzi Martin Angume afunye omusajja omulala kumunazaako ennaku y’omugenzi. Julie, musajja we ye Sam Sekajugo era agenda kumwanjula mu bazadde be Ronald Ssemugga ne Mariam Semugga nga kati bagenzi mu bitundu bye Kiboga nga 12, December, 2019. Mu Kampala ku Fair Way hotel ku Lwokutaano, ku ‘Intro shower’ Sekajugo yawadde […]


Omuyimbi Julie Angume eyali mukyala w’omugenzi Martin Angume afunye omusajja omulala kumunazaako ennaku y’omugenzi.

Julie, musajja we ye Sam Sekajugo era agenda kumwanjula mu bazadde be Ronald Ssemugga ne Mariam Semugga nga kati bagenzi mu bitundu bye Kiboga nga 12, December, 2019.

Mu Kampala ku Fair Way hotel ku Lwokutaano, ku ‘Intro shower’ Sekajugo yawadde Julie erinnya erya ‘The Heart Beat’ okumugyako era Angume era kati ayitibwa ‘Julie The Heart Beat’.

Mu Uganda, Julie ye muyimbi ate omukyala owokubiri okukola ‘Intro shower’ oluvanyuma lw’okukopa muyimbi munne Rema Namakula bwe yali yetegekera okwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde.

Vidiyo