KITALO! Omusuubuzi w’engatto e Masaka attiddwa mu bukambwe, ssente zonna zitwaliddwa

©GALAXY

Poliisi mu bendobendo lya Masaka etandiise okunoonyereza ku batemu abenyigidde mu kutta omusuubuzi mu kitundu kyabwe. Faduluh Bizimungu abadde musuubuzi wa ngatto mu kibuga kye Masaka era yawambiddwa olunnaku olw’eggulo bwe yabadde agenda mu Kampala okusuubula. Vianney Birungi, akulira Poliisi y’e Lukaya agambye nti omulambo gwa Bizimungu gwazuuliddwa mu kibira ku kyalo Bukulula ku luguudo […]


Poliisi mu bendobendo lya Masaka etandiise okunoonyereza ku batemu abenyigidde mu kutta omusuubuzi mu kitundu kyabwe.

Faduluh Bizimungu abadde musuubuzi wa ngatto mu kibuga kye Masaka era yawambiddwa olunnaku olw’eggulo bwe yabadde agenda mu Kampala okusuubula.

Vianney Birungi, akulira Poliisi y’e Lukaya agambye nti omulambo gwa Bizimungu gwazuuliddwa mu kibira ku kyalo Bukulula ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Poliisi egamba nti, kiteeberezebwa nti waddewo okusika omuguwa wakati w’abatemu n’omugenzi kuba omulambo, gusangiddwa ng’emikono gisibiddwa.

Birungi agamba nti okunoonyereza kulaga nti omusuubuzi Bizimungu yabadde alina obukadde bwa ssente kuba yabadde agenda kusuubula, abatemu kwe kumutta ne batwala ssente zonna wabula okunoonyereza kutandiise.

Ate Paul Mulindwa abadde mukwano gw’omugenzi agambye nti,  Bizimungu abadde alina emmaali mu Kampala nga yabadde atwala ssente ezibanjibwa.

Mungeri y’emu Mulindwa akulembeddemu abatuuze okusaba Gavumenti okubatwalira kkamera mu byalo olwa batemu okuva mu kibuga ne badda mu byalo.