Bya Nalule Aminah Pulezidenti w’ekibiina kya Democratic Party (DP) Norbert Mao avuddeyo ku nsonga z’abayimbi omuli Catherine Kusasira ne Full Figure okukubwa obucupa e Nabugabo ku Boxing Day nga 26, December, 2019. Oluvanyuma lwa Kusasira okukubwa obucupa, ku face Book, yagambye nti, “You can not take away freedom to protect it….’ Ekivvuunulwa nti, “Toyinza kusaanyaawo […]
Bya Nalule Aminah
Pulezidenti w’ekibiina kya Democratic Party (DP) Norbert Mao avuddeyo ku nsonga z’abayimbi omuli Catherine Kusasira ne Full Figure okukubwa obucupa e Nabugabo ku Boxing Day nga 26, December, 2019.
Oluvanyuma lwa Kusasira okukubwa obucupa, ku face Book, yagambye nti, “You can not take away freedom to protect it….’ Ekivvuunulwa nti, “Toyinza kusaanyaawo ddembe ng’ate ly’ogamba nti ly’olwanirira era n’agaamba nti era n’annyonnyoola nti anoonya eddembe tasooka kusaanyaawo ddembe lya balala. Tosobola kusooka kwonoona katale ate k’ogamba nti k’olwanirira, oba okwagala okulwanirira eddembe ly’okweyogerera naye ng’soose kugaana balala kwogera na ddala abo be mutakkaanya nabo mu ndowooza. Okuggyako abalala eddembe lyabwe nga mwefuula abalwanirira eddembe ly’abantu kiba kya bunnanfuusi. Nze nkyali mugumu kakobogo, ebyabaddewo tebintiisa“.
Kusasira nga tannasalawo kukulemberamu okusaggulira Museveni obululu naddala mu Ghetto za Kampala n’emiriraano, yayimbirako Bobi Wine mu kampeyini ze yalimu ku kifo kya Kyaddondo East kye yawangula mu 2017.
Wabula mu kwogerako eri bannamawulire ku Kampala, Mao agambye nti tewali bukakafu nti abantu abaakubye Kusasira obucupa bawagizi ba Bobi Wine.
Mao agamba nti Omukulembeze wa People Power Bobi Wine alina okuvaayo ku nsonga eyo kyokka abantu okweyisa mu ngeri bwetyo, kabonero akalaga nti bannayuganda balina obusungu kyokka abakulembeze balina okulembeza okwenenya n’okusonyiwagana.
Audio Enkambwe