BAMBI! Martha Kay alaze lwaki tayinza kwerabira 2019 mu bulamu bwe, afulumizza ebifaananyi 9 okumujjukiza embeera yonna

©GALAXY

Munnakatemba Martha Kay alaze nti omwaka 2019 alina ogujjukira mu bulamu bwe bwonna. Omwaka 2019, Martha y’omu ku bawala abakoze amawulire oluvanyuma lw’ebifaananyi bye okufulumizibwa ng’ali bukunya mu August. Amangu ddala, Poliisi yakwata abantu babiri (2) okuli Herbert Arinaitwe amanyikiddwa nga John Paul, 27 okuva e Rubaga ne Farid Mukiibi, 34 ku misango gy’okubba essimu […]


Munnakatemba Martha Kay alaze nti omwaka 2019 alina ogujjukira mu bulamu bwe bwonna.
Omwaka 2019, Martha y’omu ku bawala abakoze amawulire oluvanyuma lw’ebifaananyi bye okufulumizibwa ng’ali bukunya mu August.

Amangu ddala, Poliisi yakwata abantu babiri (2) okuli Herbert Arinaitwe amanyikiddwa nga John Paul, 27 okuva e Rubaga ne Farid Mukiibi, 34 ku misango gy’okubba essimu ya Martha ne bamusaba ssente kyokka oluvanyuma ne bafulumya ebifaananyi bye ne batwalibwa ne mu kkooti.

Wadde Martha yaswala nnyo, alaze nti ebintu yabivaako dda era mu alubamu y’ebifaananyi ey’omwaka 2019, ataddemu ebifaananyi mwenda (9) ebisinze okumunyumira n’okujjukira omwaka mulamu nga temuli kiraga nti yali abaddeko obukunya ku Face Book era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okugamba nti, “Best nine of 2019“.

Alubamu y’Ebifaananyi