Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White alaze nti yakoowa abantu kuba balina enkwe, tebasiima ate tebesigika. Omwaka 2017, Bryan White yali alina abantu abasukka 30 ku ‘Podium’ wansi w ekibiina kye ekya Bryan White Foundation omuli abayimbi, bannakatemba, abakozi n’abantu babuligyo kyokka bangi mu kiseera kino yabeegobako. Bryan White okulaga nti yakoowa abantu, asobodde […]
Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White alaze nti yakoowa abantu kuba balina enkwe, tebasiima ate tebesigika.
Omwaka 2017, Bryan White yali alina abantu abasukka 30 ku ‘Podium’ wansi w ekibiina kye ekya Bryan White Foundation omuli abayimbi, bannakatemba, abakozi n’abantu babuligyo kyokka bangi mu kiseera kino yabeegobako.
Bryan White okulaga nti yakoowa abantu, asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Face Book okulaga ebijujjulu ebyamyuka bibiri (2) beyeesiga era abalina omukisa okulya ku ssente ze.
Mungeri y’okulaga ssente, Bryan White ebijujjulu abigulidde ensaniya z’emmere ebitundu by’ekyama ne bicamuka oluvanyuma lw’okutuyana olwe mmere ne by’okunywa.