Fille yekengedde Mc Kats okumusiiga obulwadde, aguze akaveera okwambala omubiri gwonna okumulemesa okugikwatako, atambula ayambadde

©GALAXY

Oluvanyuma lwa MC Kats okulangirira nti alina akawuka akaleeta mukenenya, nate abamu ku bannayuganda balemeddeko nga bagamba nti wadde yalaze nti alina Omutima omulungi, bw’aba mukyala we Fille ssi mulwadde, yandibadde amwesonyiwa okuyambako okukuza abaana. Mc Kats yagambye nti awangadde ne siriimu emyaka munaana (8) era abadde ku ddagala ly’ekinnansi. Agamba nti yalangiridde kuba sirimu […]


Oluvanyuma lwa MC Kats okulangirira nti alina akawuka akaleeta mukenenya, nate abamu ku bannayuganda balemeddeko nga bagamba nti wadde yalaze nti alina Omutima omulungi, bw’aba mukyala we Fille ssi mulwadde, yandibadde amwesonyiwa okuyambako okukuza abaana.

Mc Kats yagambye nti awangadde ne siriimu emyaka munaana (8) era abadde ku ddagala ly’ekinnansi.
Agamba nti yalangiridde kuba sirimu alina eddagala tali nga Kkansa oba sukaali.

Wabula mu waliwo ekifaananyi ekiraga nti Fille yali ayambadde akaveera ku lugoye lwe kyokka abantu abasobodde okuwayamu naffe omuli Kaye, Lubwama, Nakalema ne Kawalya, bagambye nti ebiriwo, biraga nti Fille atandiise okwesamba Mc Kats wadde amulinamu omwana.
Lubwama agambye nti Fille okwambala akaveera, kiraga nti alina okutya nti Kats ayinza okumusiiga obulwadde era ayambadde mu ngeri y’okumusindikiriza.

 

Lubwama abyogedde mu ngeri y’okubalaata.
Nze ng’omuwandiisi ndi musanyufu nnyo olwa MC Kats okulangirira nti mulwadde kuba sereebu, okulangirira kwe, kiyambako abantu abalala obutatya kuvaayo kulangirira.
Okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya, abantu balina okuvaayo mu lwatu nga MC Kats ne bayambako Gavumenti okusomesa abantu ebikwata ku kawuka n’okubakubiriza okwekuuma.