Poliisi ekutte Ssemakadde ku by’okubba Kompyuta ne Kkamera

©GALAXY

Bya Nalule Aminah Poliisi mu Kampala ekutte omusajja ku by’okubba Kompyuta ssaako ne Kkamera okuva mu offisi z’ekitongole ekivunaanyizibwa okuwandiisa abantu mu ggwanga ekya NIRA mu bitundu bye Kyankwanzi. Sulaiman Ssemakadde myaka 25 yakwattiddwa nga mu kiseera kino ali ku Poliisi ya Kampala mukadde ku misango gy’obubbi. Luke Oweyesigyire nga y’amyuka omwogezi wa Poliisi mu […]


Bya Nalule Aminah

Poliisi mu Kampala ekutte omusajja ku by’okubba Kompyuta ssaako ne Kkamera okuva mu offisi z’ekitongole ekivunaanyizibwa okuwandiisa abantu mu ggwanga ekya NIRA mu bitundu bye Kyankwanzi.
Sulaiman Ssemakadde myaka 25 yakwattiddwa nga mu kiseera kino ali ku Poliisi ya Kampala mukadde ku misango gy’obubbi.
Luke Oweyesigyire nga y’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agambye nti 31, December, 2019, Ssemakadde ne banne, benyigira mu kumenya offisi za NIRA e Kyankwanzi ne batwala kompyuta ekika kya laptop 18 ne kkamera 25.
Oweyesigyire agamba nti Ssemakadde akirizza okwenyigira mu kumenya offisi, era essaawa yonna, Poliisi ya Kampala Mukadde yakumutwala e Kyankwanzi gye yaddiza emisango gino.