Poliisi ekutte 2 ku by’okugingaginga ebiwandiiko okuyingira amaggye ga UPDF

©GALAXY

Poliisi y’e Rukungiri ekutte abantu babiri (2) ku by’okugingaginga ebiwandiiko, okusobola okwewandiisa okuyingira ekitongole ky’amaggye ga UPDF. Abakwate kuliko Deo Aikiman nga mutuuze ku kyalo Mpungu mu disitulikiti y’e Kanungu ne Andrew Twinamatsiko nga yavudde ku kyalo Ramabondo mu disitulikiti y’e Ntungamo. Okusinzira ku mwogezi wa UPDF ow’ekibinja eky’okubiri (2) Maj. Charles Kaboona, Aikiman yakwattiddwa […]


Poliisi y’e Rukungiri ekutte abantu babiri (2) ku by’okugingaginga ebiwandiiko, okusobola okwewandiisa okuyingira ekitongole ky’amaggye ga UPDF.

Abakwate kuliko Deo Aikiman nga mutuuze ku kyalo Mpungu mu disitulikiti y’e Kanungu ne Andrew Twinamatsiko nga yavudde ku kyalo Ramabondo mu disitulikiti y’e Ntungamo.

Okusinzira ku mwogezi wa UPDF ow’ekibinja eky’okubiri (2) Maj. Charles Kaboona, Aikiman yakwattiddwa bwe yaleese ebiwandiiko ebikyamu, ebiraga nti alina diguli mu by’eddagala nga yagifuna okuva ku Kampala International University.

Mungeri y’emu Aikiman yabadde egezaako okuwa enguzi ya mitwalo ettaano (50,000) okumuyimbula, oluvanyuma lw’okwattibwa ku misango gy’okugingaginga ebiwandiiko.

Ate Twinamatisko yakwattiddwa olw’okugingaginga ebbaluwa ya ssentebe w’ekyalo, okumukkiriza okuyingira amaggye.

Maj. Kaboona era agamba nti Twinamatisko abadde anoonyezebwa Poliisi ku misango egy’enjawulo era kyabanguyidde okumukwata.

Abakwate bali ku Poliisi y’e Rukungiri.

Ku bantu abasukka 700, abaavudde Rukungiri, Kanungu ne Ntungamo batutteko abantu 78 nga kuliko abawala munaana (8).