Munnamawulire wa NTV Faridah Nakazibwe y’omu ku bakyala abasanyufu mu kiseera kino oluvanyuma lwa muwala we Aaliyah Ankunda Ashurah okukola obulungi ebigezo bya PLE ebifulumiziddwa minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni emisana ga leero. Ankunda muwala wa Dan Nankunda, eby’ekikugu ku NTV, afunye obubonero 5. Mungeri ey’enjawulo, Aaliyah asiimiddwa era afulumidde ku mukutu ogwa Twitter ogwa NTV […]
Munnamawulire wa NTV Faridah Nakazibwe y’omu ku bakyala abasanyufu mu kiseera kino oluvanyuma lwa muwala we Aaliyah Ankunda Ashurah okukola obulungi ebigezo bya PLE ebifulumiziddwa minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni emisana ga leero.

Ankunda muwala wa Dan Nankunda, eby’ekikugu ku NTV, afunye obubonero 5.
Mungeri ey’enjawulo, Aaliyah asiimiddwa era afulumidde ku mukutu ogwa Twitter ogwa NTV Uganda okumuyozayoza okukola obulungi kuba y’omu ku bayizi abayitidde mu ddaala erisooka (1st Grade), “Congratulations 🎊 to NTV Uganda’s very first baby, Aaliyah Ankunda Ashurah. She scored aggregate 5 in the just-released #PLE2019Results. Aaliyah is daughter to News Anchor Faridah Nakazibwe and Head of Technical Department, Dan Nankunda“.
Ebivudde mu bigezo, biraga bayizi nti 69,243 bayitidde mu ddaala erisooka nga bafunye ‘First Grade’ (1st Grade), 318,155 bafunye 2nd Grade, 140,420 bafunye 3rd Grade, 89,332 bayitidde mu 4th Grade, abayizi 66,152 bagudde n’enkoona n’enywa ate abayizi 1,512 ebigezo bikwatiddwa.
Ebigezo biraga nti abaana abalenzi 39,182 bayittira mu ddaala erisooka ate abawala bali 30,061, ate abo abayittira mu ddaala ery’okubiri abalenzi bali 159,923 ate abawala bali 158,232.
Ate ddaala ery’okusattu abalenzi bali 60,244 ate abawala bali 80,176, ate abayittira mu ddala eryokuna abalenzi bali 43,868 ate abawala bali 45,464 ate bbo abagudde abalenzi bali 26,976 ate abawala bali 39, 176.