Poliisi ezudde emirambo 3 egy’abantu abattiddwa olw’eggulo, gitwaliddwa e Mulago

©GALAXY

77SharesKyaddaki Poliisi ezudde amannya g’abantu 3 abafudde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo oluvanyuma lw’okubutikirwa ettaka nga bali ku ddimu ly’okuzimba ekinnya kya kazambi, e Seeta ku luguudo lwe Bukerere mu ggombolola y’e Ggoma mu disitulikiti y’e Wakiso. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abantu abafudde nga bakedde kugyayo mirambo gyabwe kuliko Ssalongo Sempala, […]


Kyaddaki Poliisi ezudde amannya g’abantu 3 abafudde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo oluvanyuma lw’okubutikirwa ettaka nga bali ku ddimu ly’okuzimba ekinnya kya kazambi, e Seeta ku luguudo lwe Bukerere mu ggombolola y’e Ggoma mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abantu abafudde nga bakedde kugyayo mirambo gyabwe kuliko Ssalongo Sempala, 45 ng’abadde mutuuze ku kyalo Bukerere mu ggombolola y’e Ggoma mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abalala ye Charles Musika Nelson myaka 50 ng’abadde mutuuze we Budondo mu disitulikiti y’e Jinja ne John Kato Kibombo myaka 48 okuva e Nabuuta mu ggombolola y’e Ggoma mu disitulikiti y’e Wakiso.

Onyango agamba nti abantu 2 okuli Charles Kyagulanyi ne Isma Kagga baasimatuse okufiira akabenje.

Ekinnya kya kazambi, kyabadde ku kizimbe kya Yesu Amala nga kiri mu fuuti 20 nga kya mugagga Ronald Lwanga.

Poliisi etandiise okunoonyereza ekyavuddeko ettaka okutta abantu era emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.