AUDIO! Bebe Cool alaze Bobi Wine amaanyi, akoze oluyimba lwa ‘CoronaVirus’ n’abayimbi abanene, Busoga ne Lira ekiikiriddwa

©GALAXY

Omuyimbi Bebe Cool naye avuddeyo okuyambako okusomesa bannayuganda engeri gye bayinza okwewalamu ekirwadde kya Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Coronavirus. Bebe Cool asobodde okweyambisa talenti y’okuyimba naye okufulumya oluyimba nga Bobi Wine ne Nubian Li bwe baakoze nga zonna zikwata ku ngeri y’okwetangira Covid-19. Bebe okwawukanako ne Bobi Wine, asobodde okweyambisa abayimbi ab’enjawulo okuwa bannayuganda obubaka […]


Omuyimbi Bebe Cool naye avuddeyo okuyambako okusomesa bannayuganda engeri gye bayinza okwewalamu ekirwadde kya Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Coronavirus.

Bebe Cool asobodde okweyambisa talenti y’okuyimba naye okufulumya oluyimba nga Bobi Wine ne Nubian Li bwe baakoze nga zonna zikwata ku ngeri y’okwetangira Covid-19.

Bebe okwawukanako ne Bobi Wine, asobodde okweyambisa abayimbi ab’enjawulo okuwa bannayuganda obubaka obutuufu.
Abayimbi abakoze ne Bebe Cool kuliko John Blaq okuva e Busoga, Lady Akira okuva e Lira, Fresh Kid ne kitaawe Fresh Daddy, Apass.
Abalala ye Vinka ne Azawi okuva mu Swangz Avenue.