VIDIYO! ‘Bambi munyambe sisobola kussa’, wuuno omuwala abagambibwa okuba omulwadde wa ‘Coronavirus’ e Mulago atabudde abantu, Ambulensi emututte ataawa

©GALAXY

Bya Nakaayi Rashidah Bannayuganda abasukka mu 100, bakedde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okwekebejjebwa oluvanyuma lwa Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng okuyita abantu bonna abaaliko e Dubia mu sabiti 2 eziyise, okuggya okwekebejjebwa. Minisita Aceng agamba nti Uganda, efunye abalwadde okuva mu kibuga Dubai, ekiraga nti bangi ku bantu abaayingira eggwanga nga tebali mu […]


Bya Nakaayi Rashidah

Bannayuganda abasukka mu 100, bakedde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okwekebejjebwa oluvanyuma lwa Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng okuyita abantu bonna abaaliko e Dubia mu sabiti 2 eziyise, okuggya okwekebejjebwa.

Minisita Aceng agamba nti Uganda, efunye abalwadde okuva mu kibuga Dubai, ekiraga nti bangi ku bantu abaayingira eggwanga nga tebali mu kalantini yaabwe, abayinza okuba abalwadde.

Enkya ya leero, omusasi waffe, akedde ku ddwaaliro e Mulago era asaanze, abantu abasukka 100 nga kuliko n’omuwala ali mu myaka 24 ali mu mbeera embi.

Omuwala abadde atawaanyizibwa okussa ssaako n’amaaso okumyuka era Ambulensi eyitiddwa natwalibwa  mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Ambulensi ebadde eraga nti eva ku ddwaaliro ly’abakyala e Bukoko era kigambibwa omuwala gy’atwaliddwa.

 

Omuwala, abadde mu maziga agambye nti, “bambi munyambe Sisobola kussa” kyokka tewali musirikale yenna amukutteko wadde omusawo ku ddwaaliro e Mulago kuba kiraga nti muli omu abadde amutya okumukwatako.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agambye nti omulimu gw’omusirikale kutegeeza ku basawo n’okunyweza ebyokwerinda kuba si bakugu mu by’okujanjaba.

Minisita Omubeezi ow’eby’obulamu Robinah Nabbanja agambye nti agenda kunoonyereza ku ky’omuwala atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Ate ku ky’abantu abaasangiddwa ku ddwaaliro ng’abalinze abasawo okubekebejja oba balina obulwadde obwa Covid-19 obusasaanyizibwa akawuka ka CoronaVirus, Minisita Nabbanja agambye nti bangi ku bantu abageenda mu ddwaaliro basusizza ennaku 14 nga bali mu Uganda, ekiraga nti tebalina bulwadde era tebagwanidde kukeberebwa.

Mu kiseera kino Uganda erina abalwadde 18 abalina Covid-19.

Vidiyo y’omuwala