TWESABIRE! Omuwendo gw’abalwadde ba ‘Coronavirus’ mu Uganda gweyongedde, minisitule y’ebyobulamu erangiridde abalala

©GALAXY

205SharesMinisitule yebyobulamu erangiridde nti omuwendo gw’abalwadde ba Covid-19 gweyongedde mu ggwanga. Obulwadde bwa Covid-19 busasaanyizibwa akawuka ka Coronavirus era mu kiseera kino Uganda erina abalwadde 30. Minisitule egamba nti olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, abantu 225 bebakebeddwa obulwadde, 7 bazuuliddwa nga balina Covid-19. Olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yagambye nti okutangira obulwadde okusasaana, yasuubiza okulangirira […]


Minisitule yebyobulamu erangiridde nti omuwendo gw’abalwadde ba Covid-19 gweyongedde mu ggwanga.
Obulwadde bwa Covid-19 busasaanyizibwa akawuka ka Coronavirus era mu kiseera kino Uganda erina abalwadde 30.

Minisitule egamba nti olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, abantu 225 bebakebeddwa obulwadde, 7 bazuuliddwa nga balina Covid-19.

Olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yagambye nti okutangira obulwadde okusasaana, yasuubiza okulangirira obukwakulizo obupya.
Mu kiseera kino, Museveni yaggalawo ensalo, amassomero, amasinzizo, okuyimiriza entambula y’olukale n’obukwakulizo obulala.