Poliisi ekutte abasajja 23 lwa kusula ku kazigo kamu, batwalibwa mu kkooti ku misango emikambwe

©GALAXY

Poliisi y’e Nsangi ekutte abantu 23 nga bonna basajja, abasaangiddwa nga bali mu kazigo kamu mu ngeri etankanibwa. Abasajja basaangiddwa ku kyalo Nkokonjeru, e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate bali ku misango gya kulagajjalira bulamu, ekiyinza okuvako ‘CoronaVirus’ okusasaana. Mungeri y’emu agambye nti kiteeberezebwa […]


Poliisi y’e Nsangi ekutte abantu 23 nga bonna basajja, abasaangiddwa nga bali mu kazigo kamu mu ngeri etankanibwa.

Abasajja basaangiddwa ku kyalo Nkokonjeru, e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate bali ku misango gya kulagajjalira bulamu, ekiyinza okuvako ‘CoronaVirus’ okusasaana.

Mungeri y’emu agambye nti kiteeberezebwa nti bonna benyigira mu kumenya amateeka era essaawa yonna, okuva kati, bakutwalibwa mu kkooti.