ESSANNYU LYA WAAYA! Flavia Tumusiime azaalidde bba Kabuura omwana asooka, bebbi afaananye kitaawe

©GALAXY

590SharesMunnamawulire Flavia Tumusiime azaalidde bba Andrew Kabuura omwana asoose mu bulamu bwe era olunnaku olwaleero afuuse taata. Amawulire getufunye galaga nti Tumusiime azadde emisana ga leero mu ddwaaliro e Nakasero. Okusinzira ku mikwano gya famire, Tumusiime azaaliddwa Kabuura omwana omulenzi era maama n’omwana bonna bali mu mbeera nungi era omwana mbu afaananye nnyo kitaawe. Kigambibwa Kabuura […]


Munnamawulire Flavia Tumusiime azaalidde bba Andrew Kabuura omwana asoose mu bulamu bwe era olunnaku olwaleero afuuse taata.

Amawulire getufunye galaga nti Tumusiime azadde emisana ga leero mu ddwaaliro e Nakasero.

Okusinzira ku mikwano gya famire, Tumusiime azaaliddwa Kabuura omwana omulenzi era maama n’omwana bonna bali mu mbeera nungi era omwana mbu afaananye nnyo kitaawe.

Kigambibwa Kabuura abadde asuubira balongo wabula omukyala amuzaalidde mwana mulenzi.