Poliisi etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu, abatandise okutisatiisa abantu ab’enjawulo okubasindikira ssente okuba okubaswaza nga beeyambisa emitimbagano. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, bantu okuli abakiise ba Palamenti, bannamateeka, abasawo ssaako n’abasuubuzi mu Kampala, bebali mu kutya olw’abantu abatamanyiddwa okubakubira amasiimu okusindika ssente oba okuta ebifaananyi byabwe nga bali […]
Poliisi etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu, abatandise okutisatiisa abantu ab’enjawulo okubasindikira ssente okuba okubaswaza nga beeyambisa emitimbagano.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, bantu okuli abakiise ba Palamenti, bannamateeka, abasawo ssaako n’abasuubuzi mu Kampala, bebali mu kutya olw’abantu abatamanyiddwa okubakubira amasiimu okusindika ssente oba okuta ebifaananyi byabwe nga bali bukunya.
Onyango agamba nti bafunye abantu abasukka mu 100 abali mu kutya olw’okutisatiisibwa era kigambibwa waliwo akabinja k’abantu abali mu kweyambisa kompyuta okwambula abantu, nga beyambisa ebifaananyi bya Yintanenti.
Mungeri y’emu agambye nti waliwo abatidde okuswala ne basindika ssente nga basabiddwa wakati w’obukadde 3 na 30 wabula Poliisi etandiise okunoonyereza era yenna anaakwatibwako ali ku misango gy’okufuna ssente mu lukujukujju.
Onyango agaanye okwatuukiriza erinnya ly’omuntu yenna kw’abo abali mu kutya mu kiseera kino.
Eddoboozi lya Onyango