Muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba alemeddeko ku nsonga za TV ne Laadiyo okuwa abakozi omusaala omutono mu ggwanga Uganda, ekikuumidde bangi ku bakozi mu mbeera embi. Sheilah agamba nti yali ku NTV nga buli lunnaku bamuwa emitwalo 5 (50,000) okuva ku Mmande okutuusa ku Lwokutaano, ng’omwezi afuna akakadde kamu (1,000,000). Agamba nti wadde yali […]
Muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba alemeddeko ku nsonga za TV ne Laadiyo okuwa abakozi omusaala omutono mu ggwanga Uganda, ekikuumidde bangi ku bakozi mu mbeera embi.
Sheilah agamba nti yali ku NTV nga buli lunnaku bamuwa emitwalo 5 (50,000) okuva ku Mmande okutuusa ku Lwokutaano, ng’omwezi afuna akakadde kamu (1,000,000).
Agamba nti wadde yali akyalina omulimu, yakoowa okuba ku TV olw’omusaala omutono.
Ebigambo bye, bitabudde abantu ab’enjawulo omuli bannamawulire ne bannanyini mikutu era buli omu ensonga agikutte mu ngeri ye.
Sheilah ng’ayita ku mukutu ogwa Instagram agamba nti obuganzi oba okumanyika ennyo mu ggwanga tekisobola kuyamba muntu yenna kwetusaako byetaago. Agamba kirungi nnyo omuntu yenna okuba omuganzi mu bantu ng’alina ne ssente. Mungeri y’emu agamba bannamawulire balina okuvaayo okubanja okuboongera omusaala okwetusaako ebyetaago n’okutuukiriza ebirooto byabwe. Sheilah agamba nti kirungi omuntu yenna okwagala omulimu gwe ate era kirungi nnyo okufuna omusaala ogwetaagisa ku mulimu gwo, “Fame doesn’t pay your bills but Money does!! So make sure the fame and the money add up. Stand up for a better pay that will help you live the life you deserve and dream of! It’s good to love what you do but it’s better to be well paid for what you love ( job)”.
Mu Uganda, abamu ku bannamawulire abalina erinnya ye Douglas Lwanga ne MC Kats kyokka ebigambo bya Sheilah biraga nti wadde bakulu mu myaka ne mu kisaawe ky’amawulire, balina okulowooza ennyo ku misaala gyabwe.