OMG! Abantu bekyaaye lwa ‘ColonaVirus’ mu Uganda, 35 battiddwa, Poliisi erangiridde ekiddako

©GALAXY

Poliisi yaakafuna emisango gy’abantu 35 abattiddwa mu bitundu bye Aswa oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okusindika abantu kumuggalo ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana mu ggwanga. Okusinzira ku Poliisi, abantu abattiddwa kivudde ku butakaanya ku ttaka, abantu okwetta, abantu okutwalira amateeka mu ngalo, obutakaanya mu maka, laddu okubakuba n’emisango emirala. Alipoota ya Poliisi eraga […]


Poliisi yaakafuna emisango gy’abantu 35 abattiddwa mu bitundu bye Aswa oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okusindika abantu kumuggalo ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana mu ggwanga.

Okusinzira ku Poliisi, abantu abattiddwa kivudde ku butakaanya ku ttaka, abantu okwetta, abantu okutwalira amateeka mu ngalo, obutakaanya mu maka, laddu okubakuba n’emisango emirala.

Alipoota ya Poliisi eraga nti abantu 7 bebakattibwa mu disitulikiti y’e Omoro, Gulu abantu 6, Pader abantu 6, Amuru abantu 3, Kitgum abantu 3 n’ebitundu ebirala.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu ebyo, Patrick Jimmy Okema agambye nti emisango gyona egy’abantu abattiddwa, Poliisi eri mu kuginoonyerezaako era abakwate bakutwalibwa mu kkooti.

Mungeri y’emu alabudde abatuuze okweyambisa abakulembeze ku byalo ssaako ne Poliisi, ku buli nsonga yonna okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.