Poliisi y’e Kawempe eri mu kunoonya abatuuze abakedde okutwalira amateeka mu ngalo ne batta omusajja Tamale Peter myaka 27 abadde omutuuze we Nabweru eyamaserengetta. Tamale asangiddwa mu kisakaate ky’omutuuze Abdul Karim mu zzooni y’e Tebyoleka, Bwaise Kawempe ku ssaawa nga 12 ez’okumakya era akubiddwa okutuusa lw’afudde. Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke […]
Poliisi y’e Kawempe eri mu kunoonya abatuuze abakedde okutwalira amateeka mu ngalo ne batta omusajja Tamale Peter myaka 27 abadde omutuuze we Nabweru eyamaserengetta.
Tamale asangiddwa mu kisakaate ky’omutuuze Abdul Karim mu zzooni y’e Tebyoleka, Bwaise Kawempe ku ssaawa nga 12 ez’okumakya era akubiddwa okutuusa lw’afudde.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, tekimanyiddwa lwaki Tamale attiddwa, kuba tewali kabonero kalaga nti abadde mubbi.
Poliisi egamba nti Karim asaangirizza Tamale mu kisakaate kye bw’abadde akedde okugenda okusaala kyokka naye alabiddewo ng’abatuuze batuuse nga bakutte emiggo n’amayinja era Tamale akubiddwa okutuusa lw’afudde.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Mulango era okunoonya abatuuze abenyigidde okutwalira amateeka mu ngalo kutandikiddewo.