Poliisi y’e Mukono eri mu kunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku Isaac Ecudu, 24 abadde omukozi ku Quality Plastics Ltd era abadde omutuuze ku kyalo Nangwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono. Okusinzira ku baneyiba, Ecudu yafunye obutakaanya ne mukyala we Salome Aanyu, 20 ku Lwokutaano ekiro era bagamba nti wakati mu kulwanagana omukyala […]
Poliisi y’e Mukono eri mu kunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku Isaac Ecudu, 24 abadde omukozi ku Quality Plastics Ltd era abadde omutuuze ku kyalo Nangwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono.
Okusinzira ku baneyiba, Ecudu yafunye obutakaanya ne mukyala we Salome Aanyu, 20 ku Lwokutaano ekiro era bagamba nti wakati mu kulwanagana omukyala yafumise bba akambe akamutiddewo.
Amangu ddala Poliisi y’e Mukono yayitiddwa era omukyala Aanyu yakwattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 20, June, 2020 ku misango gy’obutemu.
Asp Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo oluvanyuma lwa Poliisi okuzuula akambe n’engoye nga kuliko omusaayi.
Kigambibwa omukyala abadde alumiriza bba Ecudu obutamutuusa ku ntikko buli mulundi nga bagenze mu kaboozi olw’okufuna abawala abalala.