KIWEDDE! Pulezidenti Museveni awadde abasaluuni, Akeedi n’amasomero esuubi, aba bodaboda alangiridde ekiddako

©GALAXY

265SharesSsentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alabudde nti Uganda eyolekedde akaseera akazibu olwa bannayuganda okulagajjala mu kulwanyisa Covid-19. Museveni bw’abadde ayogerako eri eggwanga ekiro kya leero, agambye nti omutendera oguddako muzibu nnyo eri bannayuganda okuva lwe baggulawo entambula ey’olukale, Minisitule y’ebyobulamu etandiise okufuna abantu abalwadde okuva mu bantu. Museveni era agambye […]


Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alabudde nti Uganda eyolekedde akaseera akazibu olwa bannayuganda okulagajjala mu kulwanyisa Covid-19.

Museveni bw’abadde ayogerako eri eggwanga ekiro kya leero, agambye nti omutendera oguddako muzibu nnyo eri bannayuganda okuva lwe baggulawo entambula ey’olukale, Minisitule y’ebyobulamu etandiise okufuna abantu abalwadde okuva mu bantu.

Museveni era agambye nti, “Mbadde ntandise okwebuuza omugaso gwa Kafyu naye bannasayansi bagamba nti Kafyu ayamba okukendeeza ku nsaasana y’ekirwadde kino (Covid-19 n’okukendeeza ku buzzi bw’emisango mu ggwanga era Kafyu asigaddewo”.

Mungeri y’emu Museveni akkiriza emmotoka ez’obuyonjo okwongerako omuntu omu nga kati bakkirizibwa okutwala abantu 4 okuva ku 3.

Pulezidenti Museveni agamba nti bodaboda zisobola bulungi okukozesa obukubo obutono okutuuka mu maka ag’enjawulo era nga zakusigala nga zeetikka migugu kuba kiyinza okutambuza obulwadde singa zikkirizibwa okuddamu okutambuza abantu.

Ku nsonga y’okuggulawo amasinzizo, Museveni agambye nti, “okuggulawo amasinzizo kiyinza okubeera ekizibu kuba abantu bava mu bifo eby’enjawulo, abatamanyiddwa gyebayise. Amasinzizo gakusigala nga maggale nga abakugu bakyetegereza”.

Pulezidenti Museveni era agamba nti emirambo gya bannayuganda gisobola okukomezebwawo wano singa gibeera n’ebiwandiiko byonna ebyetaagisa era bannanyini bantu bano balina okukolagana obulungi ne Minisitule okuli ey’ebyobulamu n’ensonga z’omunda mu ggwanga okusobola okutangira okusasaanya obulwadde.

Museveni agamba saluuni zakusigala nga nziggale kubanga zino ziyambyeko okusaasanya ebirwadde nga Ebola ate nga kizibu okulondoola abantu abazigendamu kubanga babeera bangi.

Ku nsonga y’okuggula amassomero, Museveni agamba nti, “amasomero gakusigala nga maggale. Tewali muntu afaayo eri Uganda ayinza kwagala masomero kuggulawo kati kubanga kya bulabe. Wabeewo obugumikiriza kubanga bagenda kugabira amaka leediyo ez’obwerere abayizi kwebanasomera”.

Museveni agamba nti Minisitule y’ebyobulamu n’ebyobusuubuzi balina okutuula okusalawo ku ngeri ya Akeedi okuddamu okutambuza emirimu kuba y’engeri yokka egenda okuyamba okutangira Covid-19 okusasaana.

Ate ku nsonga y’okulonda kwa 2021, Pulezidenti Museveni agamba nti, “akakiiko k’ebyokulonda kavuddeyo n’enkola ey’okukozesa emikutu gye byempuliziganya okunoonyezaako akalalu wabula kko akalalu kangu okulondoola omuli okunaaba engalo n’ebirala. Enkola eno nange ngiwagira era nsaba Bannayuganda mugiwagire”.

Pulezident Museveni asuubiza nti Gavumenti egenda kuyamba abantu abakoseddwa mu kiseera kino eky’okulwanyisa Kolona omuli aba saluuni, abasuubuzi abalina obulimu obutonotono ne Kapita mu ngeri y’okwewola.