Nga wasigadde ssaawa mbale, ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okwogerako eri eggwanga ku ssaawa 2 ez’ekiro, nate Minisitule y’ebyobulamu ezuddeyo abantu 4 abalina Covid-19 ne baweze omugatte gwa balwadde 774. Ku 4 abazuuliddwa, kw’abo 2,224 abaakebeddwa, 2 baddereeva okuli eyavudde mu South Sudan ku nsalo y’e Elegu ne Kenya ku nsalo […]
Nga wasigadde ssaawa mbale, ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okwogerako eri eggwanga ku ssaawa 2 ez’ekiro, nate Minisitule y’ebyobulamu ezuddeyo abantu 4 abalina Covid-19 ne baweze omugatte gwa balwadde 774.
Ku 4 abazuuliddwa, kw’abo 2,224 abaakebeddwa, 2 baddereeva okuli eyavudde mu South Sudan ku nsalo y’e Elegu ne Kenya ku nsalo y’e Malaba.
Abalala 2 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde okuli abadde mu Kalantini mu disitulikiti y’e Amuru n’omutuuze omulala mu disitulikiti y’e Kyotera.
Ata baddereeva abalala 14 abazuuliddwa nga balwadde kuliko bannansi ba Kenya 9, Tanzania 3, Burundi 1 ne Rwanda 1 bonna baziddwayo mu nsi zaabwe.
Okusinzira ku Dr. Henry Mwebesa, akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 256 abali malwaliro nga kuliko 143 bannayuganda, 113 bagwira ate abasiibuddwa 631.