Abasuubuzi mu Kampala bekokodde abakwasisa amateeka mu kitongole ki KCCA nti basukkiridde okulya enguzi, okubakkiriza okusigala nga batuunda emmaali ku makkubo. Bangi ku basuubuzi mu Kampala, begumbulidde okusimba emmotoka zaabwe ku makkubo mu maaso g’ebizimbe okuli Gazaland ssaako n’enguddo Nabugabo, Nakivubo okutunda ebintu nga basinzira mu mmotoka zaabwe olwa Akeedi okuba nga zikyali nzigale. Abasuubuzi, […]
Abasuubuzi mu Kampala bekokodde abakwasisa amateeka mu kitongole ki KCCA nti basukkiridde okulya enguzi, okubakkiriza okusigala nga batuunda emmaali ku makkubo.
Bangi ku basuubuzi mu Kampala, begumbulidde okusimba emmotoka zaabwe ku makkubo mu maaso g’ebizimbe okuli Gazaland ssaako n’enguddo Nabugabo, Nakivubo okutunda ebintu nga basinzira mu mmotoka zaabwe olwa Akeedi okuba nga zikyali nzigale.
Abasuubuzi, bagamba nti aba KCCA batwala buli kasente, okubakkiriza okusigala nga bakola era waliwo emmaali y’abantu etwaliddwa, abagaanye okubawa enguzi.
Prosy Male omu ku basuubuzi abakolera mu Akeedi ya Nalubwama, agamba nti buli lunnaku, alina okuwa abakwasa amateeka mu KCCA ssente emitwalo 3 kwe 5, okumukkiriza okusigala ng’atundira ebintu mu mmotoka ye.
Eddoboozi lya Male
Ate Winnie Namirembe nga mu kiseera kino emmotoka ye, agipaakinga ku luguudo lwe Nakivubo agamba nti buli lunnaku alina okusasaanya ssente emitwalo egisukka 10 okumukkiriza okusigala ng’akola.
Namirembe agamba nti alina okuwa emitwalo 3 egy’ekifo ky’okupakingamu, emitwalo 3 abakwasa amateeka mu KCCA, emitwalo 2 abakuumi abakuuma ekifo ssaako n’emitwalo 2 gy’abasirikale abalawuna ekifo.
Eddoboozi lya Namirembe
Kasirya Juma nga naye musuubuzi mu Kampala era nga mutuunzi wa ngoye, engato ssaako n’ensawo z’abakyala, ng’emmotoka agipakinga ku Kyaggwe road, agamba nti buli lunnaku alina okuwa enguzi esukka 10, aba KCCA obutamukwata n’okutaasa okutwala ebintu bye newankubadde abaguzi, bakyali batono ddala.
Wakati ng’abasuubuzi bakaaba, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku Mmande ekiro, yalagidde Minisitule y’ebyobulamu, Minisitule y’ebyobusuubuzi ne KCCA, okutuula okusala amagezi ku ngeri abasuubuzi abakolera mwa Akeedi gye basobola okuddamu okutambuza emirimu wakati mu kutangira Covid-19 okusasaana.
Museveni agamba nti Akeedi zikunganya abantu okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, ekiyinza okuba ekyangu mu kutambuza Kolona.
Ku nsonga y’abakwasa amateeka mu KCCA okwenyigira mu kulya enguzi, omwogezi w’ekitongole Peter Kaujju asuubiza okwogerako naffe essaawa yonna.