AUDIO ENKAMBWE! Kyaddaki Sheilah Gashumba ayogedde amazima ku by’okugyamu embutto z’abasajja, bba God’s Plan akangudde ku ddoboozi, ‘mbikooye’

©GALAXY

Kyaddaki muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba avuddeyo ku bigambibwa nti aggyemu embutto z’abasajja bangi mu Kampala olw’okutya okuzaala. Sheilah mu kiseera kino ali mu bufumbo bwa ‘kawundo kakubye eddirisa‘ ne bba Ali Marcus Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan era obulamu butambula bulungi. Mu Uganda, ebigambo bibadde byogerwa nti Sheilah olw’okwagala obulamu obulungi, afunye embutto […]


Kyaddaki muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba avuddeyo ku bigambibwa nti aggyemu embutto z’abasajja bangi mu Kampala olw’okutya okuzaala.

Sheilah mu kiseera kino ali mu bufumbo bwa ‘kawundo kakubye eddirisa‘ ne bba Ali Marcus Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan era obulamu butambula bulungi.

Mu Uganda, ebigambo bibadde byogerwa nti Sheilah olw’okwagala obulamu obulungi, afunye embutto ez’enjawulo okuva mu basajja ab’enjawulo era mbu zonna abadde azigyamu kuba agamba akyali mwana omuto okuzaala.

Wabula bwe yabadde ku NBS TV, yagambye nti mu bulamu bwe, tafunangako lubuto wadde okugyamu olubuto era yewunya ebigambo by’abantu.

Ate bba God’s Plan akangudde ku ddoboozi ku bantu abalemeddeko okutattana amannya gaabwe nga beyambisa emikutu egy’enjawulo omuli ogwa Face Book.

God’s Plan agamba nti akooye abantu okutattana amaanya g’abantu ku Social Media era atoongoza kampeyini etuumiddwa, “Stop Social Media Bully in Uganda“.

Eddoboozi lya Sheilah