AUDIO ENKAMBWE! ‘Jjajja yangambye totya tebiruma ate nze akaange katono’, Omwana gwe baasobezaako myaka 9 ayogedde buli kimu wakati mu maziga

©GALAXY

62SharesKyaddaki omwana eyasobezeddwako, alambuludde engeri jjajjaawe gye yamusobyako okutuusa okulukusa amaziga mu kiseera kino. Poliisi y’e Kayunga olunnaku olw’eggulo yakutte ssemaka atemeza mu gy’obukulu 50 nga mutuuze ku kyalo Kisagazi mu ggombolola ye Kayunga mu disitulikiti ye Kayunga ku by’okusobya ku muzzukulu we myaka 9. Ssemaka Ssentongo Ahmad nga mutunzi wa ngatto ku kyalo, yeyakwatiddwa […]


Kyaddaki omwana eyasobezeddwako, alambuludde engeri jjajjaawe gye yamusobyako okutuusa okulukusa amaziga mu kiseera kino.

Poliisi y’e Kayunga olunnaku olw’eggulo yakutte ssemaka atemeza mu gy’obukulu 50 nga mutuuze ku kyalo Kisagazi mu ggombolola ye Kayunga mu disitulikiti ye Kayunga ku by’okusobya ku muzzukulu we myaka 9.

Ssemaka Ssentongo Ahmad nga mutunzi wa ngatto ku kyalo, yeyakwatiddwa era okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto, essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku musango gw’okujjula ebitanajja.

Omuzzukulu eyasobezeddwako ali maziga mu kiseera kino ng’alumwa mu bitundu by’ekyama, olubuto ssaako n’okusaanga akaseera akazibu bw’agenda mu kabuyonjo okweyamba.

Omuzzukulu agamba nti jjajjaawe Ssentongo yamukwatidde mu kinabiro bwe yabadde agenze okunaaba kyokka namusuubiza okumutta singa ategeezako kitaawe wadde omuntu yenna kyokka olw’obulumi, yasobodde okutegezaako Ssengaawe

Mungeri y’emu omwana agamba nti jjajjaawe abadde amulemeddeko emirundi mingi okumusobyako ng’amusuubiza okumuwa ssente wakati 500 – 1,000, okutuusa lwe yakituukiriza.

Ku nsonga y’okulumwa mu lubuto n’ebitundu byekyama, omwana wakati mu kulukusa amaziga alambulula embeera gy’alimu.

Eddoboozi ly’omwana