AUDIO! Sipiika Kadaga abotodde ebyama wakati we ne Pulezidenti M7 ku nsonga ya bodaboda mu ggwanga, mwesabire

©GALAXY

1.8KSharesAba bodaboda mu Monisipaali y’e Kira abegatira mu kibiina kyabwe ekya Kira cyclists Boda Boda Association bawanjagidde sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga okubayamba, abatwale eri omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni kuba ly’ekkubo lyokka erisigaddewo, okubakkiriza okuddamu okutambuza abantu. Mu kiseera kino, Bodaboda tezikkirizibwa kutambuza bantu, amasomero, amasinzizo, Akeedi ne Saluuni, byonna bikyali biggale, nga […]


Aba bodaboda mu Monisipaali y’e Kira abegatira mu kibiina kyabwe ekya Kira cyclists Boda Boda Association bawanjagidde sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga okubayamba, abatwale eri omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni kuba ly’ekkubo lyokka erisigaddewo, okubakkiriza okuddamu okutambuza abantu.

Mu kiseera kino, Bodaboda tezikkirizibwa kutambuza bantu, amasomero, amasinzizo, Akeedi ne Saluuni, byonna bikyali biggale, nga kyakolebwa omukulembeze w’eggwanga, okutangira Covid-19 okusasaana.

Mu kwogerwako eri eggwanga emirundi egisukka 10, Mukulu Museveni agamba nti bodaboda okuzikkiriza okutambuza abantu, kyabulabe mu kiseera kino ku nsonga y’obulamu, nga kiyinza okutambuza Kolona.

Akawungeezi ka leero, aba bodaboda okuva Kira bakwasizza sipiika ekiwandiiko kyabwe nga bagamba nti basukka 2,000 mu Monisipaali y’e Kira kyokka embeera ayongedde okubigya.

Mu kiwandiiko, bagamba nti obutakola ne famire zongedde okutabuka nga tebasobola kuzirabirira.

Ssentebe abakulembeddemu Julius Byarugaba, agamba nti betaaga omukulembeze w’eggwanga okumusinsinkana, okumutegeeza engeri y’okwekuuma okusinga okwebuuza ku bantu, abatamanyi mugaso gwa Boda nga n’okuzirinnya tebazirinnya.

Sipiika Rebecca Kadaga mu kubanukula, abagumizza nti ensonga zaabwe yaziyingiramu dda era Minisitule y’ebyobulamu eri mu kuziteesaako.

Kadaga agamba nti yasisinkanyeko Pulezidenti Museveni ku nsonga ya Bodaboda okuddamu okutambuza abantu, kwekulagira Minisitule y’ebyobulamu okwongera okugyekeneenya.

Eddoboozi lya Kadaga