TUKOOYE EMBEERA EMBI! Aba bodaboda mu Kampala bakedde kwekalakaasa lwa kubalemesa kutambuza bantu

©GALAXY

Aba bodaboda mu Kampala bakedde kwekalakaasa nga beesibye enjegere ku maggulu nga bawakkanya eky’okubagaana okusaabaza abantu. Bano bagamba enjala etuuse okubatta kubanga n’emigugu omukulembeze w’eggwanga gye yabakkiriza okutambuza tebagiraba. Mu kwekalakaasa, bakutte ebipaande okuwandikiddwa ebigambo, ‘twagala mazima na bwenkanya” wabula Poliisi tebakirizza kutwala kwemulugunya kwabwe eri Palamenti. Abamu poliisi ebakutte neebagalira ku nsonga y’okumenya amateeka. […]


Aba bodaboda mu Kampala bakedde kwekalakaasa nga beesibye enjegere ku maggulu nga bawakkanya eky’okubagaana okusaabaza abantu.

Bano bagamba enjala etuuse okubatta kubanga n’emigugu omukulembeze w’eggwanga gye yabakkiriza okutambuza tebagiraba.

Mu kwekalakaasa, bakutte ebipaande okuwandikiddwa ebigambo, ‘twagala mazima na bwenkanya” wabula Poliisi tebakirizza kutwala kwemulugunya kwabwe eri Palamenti.

Abamu poliisi ebakutte neebagalira ku nsonga y’okumenya amateeka.

Asp Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti aba bodaboda okwekungaanya kiyinza okutambuza Kolona era y’emu ku nsonga lwaki bakwattiddwa ate nga balemeddwa okutegeeza ku Poliisi ku nsonga yabwe nti bagenda kwekalakaasa.