AUDIO! Akabenje mu Kampala, ssemaka attiddwa mu bukambwe, Poliisi erangiridde ekiddako

©GALAXY

Poliisi ku Jinja Road etandiise ku kabenje, akasse owa bodaboda enkya ya leero wali ku Lufula mu Kampala. Abeerabiddeko nagabwe, bagamba nti emmotoka ya Fuso namba UBE 704E egaanye okusiba kwe kuyingirira owa bodaboda abadde ku Bajaj namba UEV 697H era amangu ddala afiiriddewo. Kitegerekese nti owa bodaboda ye Rajab Kasanya ali mu gy’obukulu 50 […]


Poliisi ku Jinja Road etandiise ku kabenje, akasse owa bodaboda enkya ya leero wali ku Lufula mu Kampala.

Abeerabiddeko nagabwe, bagamba nti emmotoka ya Fuso namba UBE 704E egaanye okusiba kwe kuyingirira owa bodaboda abadde ku Bajaj namba UEV 697H era amangu ddala afiiriddewo.

Kitegerekese nti owa bodaboda ye Rajab Kasanya ali mu gy’obukulu 50 era abadde omutuuze we Kitezi.

Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika lye ddwaaliro ekkulu e Mulago, Fuso ssaako ne bodaboda bitwaliddwa ku Poliisi wali ku Jinja Road.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti Poliisi, etandiise okunoonyereza ddereeva abadde Fuso, aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Eddoboozi lya Luke