Abali mirimu gya Loogi, ebbaala ssaako Resitolanti abeegattira mu kibiina kyabwe Club, Restaurants and Entertainment owners Association baduukidde eri sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga akawungeezi ka leero nga basaba omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubaggula ssaako n’okwongezaayo essaawa za Kafyu. Mu kiwandiiko kyabwe, bagamba nti omukulembeze w’eggwanga yaggala Loogi, Kiraabu ne Resitolanti eziri mitwalo 7 […]
Abali mirimu gya Loogi, ebbaala ssaako Resitolanti abeegattira mu kibiina kyabwe Club, Restaurants and Entertainment owners Association baduukidde eri sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga akawungeezi ka leero nga basaba omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubaggula ssaako n’okwongezaayo essaawa za Kafyu.
Mu kiwandiiko kyabwe, bagamba nti omukulembeze w’eggwanga yaggala Loogi, Kiraabu ne Resitolanti eziri mitwalo 7 era abakozi abasukka obukadde 5, tebalina mirimu, okuva omwezi Ogwokusatu.
Mungeri y’emu bagambye nti ebbanga lye bakulungudde nga tebakola, bakyalemeddwa okuzaayo ssente za ‘Loan’, abakozi baabwe abafuna omusaala wakati w’emitwalo 20 kwa 30 tebalina kyakulya wadde ssente okupangisa amayumba.
Patrick Musinguzi, omuwandiisi w’ekibiina kyabwe agamba nti olw’embeera egenda mu maaso mu ggwanga, ba Landiloodi batandiise okusindikiriza abakozi baabwe, kwe kusaba omukulembeze w’eggwanga okubaggula.
Ate Barbara Natukunda, agamba nti wadde omukulembeze w’eggwanga yakkirizza Resitolanti okuddamu okutambuza emirimu, essaawa za Kafyu zibakwata, kwekusaba essaawa okwongezebwayo wakiri okudda ku ssaawa 3 oba 4 ez’ekiro.
Sipiika Rebecca Kadaga abasuubiza okuyingira mu nsonga zaabwe era abasabye okuweebwa obudde, asobole okuzekeneenya obulungi.
Eddoboozi lya Musinguzi