BIZUUSE! Byabakama akutudde Bobi Wine ne Besigye emitima, ayogedde ekyamutwala eri Pulezidenti Museveni ku by’okulonda kwa 2021

©GALAXY

114SharesKyaddaki ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama abikudde ebyama lwaki yageenze okusisinkanya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku by’okulonda kwa 2021. Byabakama agamba nti akawaayiro 61 aka Ssemateeka tekakyuka era tekamanyi mbeera yonna wadde Covid-19 era nga baali basobeddwa nga akakiiko k’ebyokulonda kubanga obudde bwali bubagwako. Agamba nti, “nzikiriza twagenda okulaba pulezidenti Museveni naye tetwagendayo lwa […]


Kyaddaki ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama abikudde ebyama lwaki yageenze okusisinkanya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku by’okulonda kwa 2021.

Byabakama agamba nti akawaayiro 61 aka Ssemateeka tekakyuka era tekamanyi mbeera yonna wadde Covid-19 era nga baali basobeddwa nga akakiiko k’ebyokulonda kubanga obudde bwali bubagwako.

Agamba nti, “nzikiriza twagenda okulaba pulezidenti Museveni naye tetwagendayo lwa kalulu, twalina obuzibu mu mbalirira yaffe nga akakiiko k’ebyokulonda mu kulonda kwa 2021 ate nga mu kiseera kyekimu aba UNRA baagala kutusengula era twagenda misana kuba twali twetaaga ssente”.

Mbabakama agamba nti banoonya  ssente okufuna ekitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda kuba webali bagenda kuyisaawo oluguudo ate ne ssente okutekateeka okulonda kwa  2021 zibulako nga nayo y’emu ku nsonga lwaki baali balina okugenda eri Pulezidenti Museveni.

Ku nsonga y’okutekateeka okulonda okulungi n’okutangira bannansi okulwala Covid-19, Byabakama agamba nti pulezidenti Museveni yabasaba basisinkane aba minisitule y’ebyobulamu era nga aba minisitule y’ebyobulamu beebalagira enkungaana za kampeyini zireme kubaawo okwewala omujjuzo gw’abantu, ekiyinza okutambuza Covid-19.

Ebigambo bya Byabakama biraga nti omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne Kizza Besigye wadde buli omu yegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga balina okukomya okulimba abantu nti Pulezidenti Museveni yalagidde Byabakama okuggyawo Kampeyini z’obufuzi.

Gavumenti ekikkaatiriza nti yakugenda mu maaso n’enteekateeka zaayo ez’okutegeka akalulu ka 2021 awatali kwongezaayo kulonda kuno.

Okusinziira ku minisita w’ebyamawulire Judith Nabakooba tewali nsonga yona eyinza kwongezesaayo kulonda.